Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga ttiimu yabebyokwerinda okuli bambega ba CID, CMI wamu ne Crime Intelligence abanoonyereza ku ttemu eryakolebwa nga 30 May mwebattira Mukisa Ronnie 43 Clerk mu IBC Advocates bwebakutte abantu 4 abagambibwa nti balina kyamanyi kyebamanyi ku ttemu lino. Bano kuliko; Karedou Robert Irama ngono muganda wa SP Irama, Mukyala we Nalwoga Brenda Cathy, CPL Anyuse Max Geoffrey, yadduka mu ggye lya UPDF mu bikwekweto ebiyindira e DRC ebya Operation Shuajaah ne yeronda okubeera omukuumi wa Karedou, ne SP Irama Vincent, ngono mu myuuka w’omuduumizi wa Poliisi owa Kampala Metropolitan Police North ngayaliko DPC w’e Ntebe.
Irama okukwatibwa kyadiridde okunoonyereza okwokoleddwa ku bisosonkole by’amasasi okulaga nti emmundu eyakozesebwa yali ya Poliisi (Finger Printed Police Gun.)
SSP Godwin Tumugumye okuva ku CID e Kibuli yakulembeddemu ttiimu yabambega abakugu okwabadde D/ASP Rashid Nyanzi ne D/ASP Hebert Ruimbwa abafuuzizza amaka ga SP Irama n’omulala bwebavunaanibwa. Abalala ababaddewo kwabaddeko Peninnah Irama ne Geofrey Muramagi, era ttiimu yazudde emundu ekika kya Sub-Machine Gun (SMG) nnamba UG Pol 56590206531783 nga okunoonyereza kwalaze nti yakozesebwa okukuba amasasi agakwatagana n’ebisonsokole ebyasangibwa mu kifo webakubira Mukisa amasasi.
Emmundu yabaddemu amasasi 30 era nga Poliisi ebakanye n’eddimu okunoonyereza engeri emuundu eyaweebwa omusirikale wa Poliisi ali ku ddaala eryawaggulu gyayakosebwa okumenya amateeka netuuka n’okukozesebwa okutta omuntu.
Bambega era basanze emotoka ez’ebbeeyi mu maka ga SP Irama ezibalirirwamu obukadde obusoba mu 600 nga kino kireetawo ebibuuzo ku musaala gwafuna n’ebintu ebyasangiddwa ewuwe.
Waliwo ensonga ezinoonyerezebwako nga zonna zekuusa ku bya ssente ng’esooka eri nti Mukisa yaguza Muganda wa SP Irama, Karodu emotoka ekika kya Toyota Land Cruiser ku bukadde 700 wabula oluvannyuma nakizuula nti emotoka yali yabukadde 500 nga yamwawulako obukadde 200.