Omusirikale wa Poliisi eyakuba omuntu essasi asindikiddwa e Luzira

Omusirikale wa Uganda Police Force ASP Lamech Owor eyakwatibwa kubyokukuba omusuubuzi w’e Namugongo essasi eryamuttirawo bweyatomera emotoka ye asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 6-October.
Owor yali musirikale wa Poliisi y’ebidduka ku Poliisi e Mukono eyasindikibwa ku Poliisi y’e Kawempe nga ICT Officer in Charge avunaanyizibwa ku kkamera enkettabikolwa, kigambibwa nti nga 13-August, Owor yakuba Brian Ssebyala omutuuze w’e Nsawo mu Namugongo essasi eryamuttirawo.
Ebiwandiiko bya Kkooti biraga nti ekiro kya 13-August, Ssebyala yapaakinga emotoka ye ekika kya Vista nnamba UAK 398D ngalinda mukwano ggwe, wabula oluvannyuma emotoka ye yatomerwa Premio, nnamba UBE 179F, eyategeerekeka oluvannyuma nti yali ya ASP Owori, omutuuze w’e Kito “B” Kirinya, Wakiso.
Poliisi egamba nti Owor bweyamala okutomera emotoka ya Ssebyala yavuga buvuzi nagenda mu maka ge, emotoka gyeyagibwa nesangibwako ebikulubule mu maaso, emmundu ye ekika kya basitoola yasangibwa amasasi 13 ng’erimu libulako era nekisosonkole ky’essasi kyasangibwa mu motoka ye.
Omuwaabi wa Gavumenti Kate Basuuta yategeezezza Kkooti nti banatera okumaliriza okukola okunoonyereza era nasabayo wiiki 3 okusobozesa Poliisi okumaliriza okunoonyereza nategeeza nti mu lutuula lwa Kkooti oluddako bajjakuba bamalirizza okunoonyereza ono bamusindike mu Kkooti Enkulu atandika okuwoza.
Leave a Reply