Omusirikale wa Poliisi eyanywa nagangayira balagidde akwatibwe

Inspector-General of Police (IGP) Martins Okoth-Ochola alagidde Omusirikale wa @Uganda Police Force ASP Yasser Masinde Okot, akwatibwe era avunaanibwe olwokufuuka ekingiringiri mu bbaala natuuka n’okwebaka ku ttaka. Ebifaananyi byomusirikale wa Poliisi ali ku ddaala lya ASP byasaasana ku Social Media ku lunaku lwa Sunday.
Okot yakulira Busoga East Region Information Communication Technology unit. Wabula kigambibwa nti Omusirikale ono atawanyizibwa obulwadde bwa sukaali era nga bamulabula okwewala okunywa omwenge omungi.
Banne bagamba nti emirundi mingi babaddenga bamukima mu mabbaala ag’enjawulo nga agudde.

1 Comment

  1. Uganda Police mwekangabiriza!
    Ono alangwa bwavu. Mulwadde ate tasobola kwelabirira -z’afuna tezimala. Mu binywero gy’asisinkana abanywanyi nebamuwaamu bambi.

Leave a Reply