Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nakalambira ku nsonga y’omusaala gw’eggye lya UPDF nga agamba nti omusirikale asookerwako wakufuna akakadde k’ensimbi za Yuganda ng’omusaala buli mwezi. Ono agamba nti abalwana mu ggye lya NRA beerekereza bingi omuli n’obutabaako mulimu guvaamu nsimbi gwebakola okusobola okununula eggwanga lyattu nga buba bulya obutabongeza musaala nti era Gavumenti erina obusobozi obusasula ssente zino.
Bino yabogeredde Lunyo mu Ntebe bweyabadde atongoza amayumba ag’omulembe 120 nga g’Abasirikale b’eggye erikuuma Pulezidenti erya SFC.