Omusirikale waffe teyabba ssimu – SP Onyango

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police SP Patrick Onyango avuddeyo ku katambi akatambula ku ‘social media’ abantu abamu mwebagambira nti omusirikale wa Poliisi yabbye essimu.
Poliisi egamba nti nga 27/7/2020 Poliisi yasindika abasajja baayo ku bitebe by’ebibiina ebivuganya Gavumenti omwali Forum for Democratic Change – FDC olw’okuba nti byali enteekateeka ez’enjawulo okubawa eby’okwerinda nti era Najjanankumbi yalimu.
Nti Poliisi bweyali ewaayo eby’okwerinda ku FDC abamu ku bawagizi bwa FDC abaali baagala okuva ku kitebe nga bakoze oluseregende bazibe oluguudo lw’e Entebe. Poliisi yategeezevwa nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yali anatera okuyita ku luguudo luno nga adda Entebe nga tebasobola kukiriza bantu kuggala luguudo.
Abawagizi ba FDC bajja nga baagala kuyingira ekitebe nebasabibwa balindeko Pulezidenti amale okuyitawo balyoke bayingire kuba tewaliwo akirizibwa kuyingira oba kufuluma wabula nebalemerako ekyawaliriza Poliisi okukozesa amaanyi agasaanidde era omukyala omu naggwa wansi bweyasituka nagezaako okulwanagana n’omusirikale.
Mu Katambi kano omusirikale wa Poliisi alabibwa nga alonda ekintu ekiddugavu okuva wansi. Poliisi egamba nti kyeyalonda gali mayinja (Police epaulette/flap – rank holder) so ssi ssimu. Poliisi egamba nti gaagwa bweyali agezaako okutereeza embeera.

Leave a Reply