Kkampuni y’omukutu gw’amasimu eya MTN egamba nti ensimbi zebabadde bayingiza okuva ku mobile money zisalise ebitundu 30 ku 100 nga wakayita omwezi gumu bukyanga gavumenti eteeka omusolo ku Mobile Money.
Aba Bank of Uganda bemulugunya nti ensimbi tezikyatambula kuba Bannayuganda basalawo okutereka ssente zaabwe nga tebakyazitambuza nsimbi zaabwe ku mikutu gya Mobile Money. Bawabudde gavumenti okuggyawo omusolo guno kuba enkola ya Mobile Money ebadde eriko omusolo ogwa 15% Excise Duty ne 10% Withholding Tax.
Bank ya Uganda enkulu egamba nti okuva omusolo gwa mobile money bwegwatekebwawo mu wiiki 2 zokka ensimbi ezitambuzibwa zaali zisaliseeko ensimbi obuwumbi 672.