Omusumba eyakwatibwa ku lwokusobya ku mwana yejeerezeddwa

Kkooti e Luweero yejeerezza eyali Omusumba wa Luteete Archdeaconry esangibwa mu Luweero Diocese Rev. Canon Kezekiah Kalule 68, ku misango gyokusobya ku mwana atanetuuka ngomusango gumaze emyaka 5.

Mu 2018, Kalule yakwatibwa ku misango gyokusobya ku mwana ow’emyaka 16 eyali yamuweebwa Jajja we okumulabirira nga yali aweererwa Compassion International ekibiina kyobwannakyeewa ekikolagana ne Church of Uganda nga mu kaseera ako omuwala yali asoma ku Luteete Primary School nga kati yazaala omwana muwala.

Kalule yavunaanibwa omusango gwokusobya ku muwala ono emirundi 2 buli week wakati wa 2014 ne 2018. Kalule ngabadde yayimbulwa ku kakalu ka Kkooti yalabiseeko mu maaso g’omulamuzi Damalie N. Lwanga okuwulira ensala y’omusago.

Omulamuzi Damalie yategeezezza nti oludda oluwaabi lwasobola bulungi okulaga nti omuwala tanaweza myaka 18 mu kaseera webasoberezaako nti era yenyigira mu kikolwa ekyokwegatta nafuna olubuto nazaala omwana omuwala nga August 8, 2018.

Omulamuzi yategeezezza nti obujulizi omuwala bweyakola ku Poliisi bwalimu ebituli okugeza nti olumu yategeeza Poliisi nti yegatta ne Emma Kalema nga bakozesa akapiira naye yewuunya engeri gyeyafunamu olubuto.

Wabula bwewayita omwezi gumu ono yetema engalike nategeeza Poliisi nti Omusumba Kalule yamusobyako mu October wa 2017 era namufunyisa olubuto. Omulamuzi weyasinzidde nategeeza nti omuwala yalimba mu emu ku sitaatimenti zeyakola kuba zaali tezikwatagana ekyaleetawo okubuusabuusa.

Bannamateeka ba Kalule basaba omwana akolebweko DNA okuzuula ani Taata w’omwana nti era ebyavaamu byalaga nti Kalule si ye Taata w’omwana.

Omulamuzi yategeezezza nti yadde DNA sikizaanyizo kyeyambisibwa mu musango gwokusobya ku mwana wabula olwokuba nti omuwala yali akyuusakyuusa obujulizi bwe, DNA yali yetaagibwa okulaba oba nga ddala gwalumiriza okumusobyako namufunyisa olubuto nti ye Taata w’omwana.

Kalule yategeezezza nti omusango guno gwapangibwa omukozi wa Compassion International eyali agobeddwa ku mulimu wabula nategeeza nti tagenda kuwolera muntu yenna naye asaba Church of Uganda emuddiremu emuzze ku mulimu.

 

Leave a Reply