Abatuuze b’e Kyabakuza mu disitulikiti y’e Masaka baguddemu entiisa, abasajja 4 abataategeerekese bwe bazingizza omusuubuzi ne bamuwamba ku mudumu gw’emmundu nga n’abaana be balabanga n’okutuuka kati tamanyiddwaako mayitire.
Abdul Hamidu Lugemwa 41, yawambiddwa ku ssaawa nga 2:300 ez’akawungeezi ku Lwokutaano bwe yabadde ava ku muzikiti nga yakatuuka awaka.
Wabaddewo emmotoka eyabadde emuvaako emabega era bwe yatuuse awaka ne muvaamu abasajja bana abaabadde mu ngoye ezaabulijjo.
Baamutadde ku mudumu gw’emmundu ne bamuteekako empingu ne bamussa mu mmotoka ekika kya Noah ne basimbula. Sumayah Nabukwasi mukyala wa Lugemwa omukulu yategeezezza nti bba olwakonkonye ku luggi yabadde agenda okumuggulira ekyaddiridde kuwulira luyogaano.
Yagenze okuggulawo ng’alaba bba bamuzingizza ne bamussa mu mmotoka etaabaddeko nnamba. Lugemwa alina ekyuma ekikuba kasooli e kyabakuza nga kikozesa abantu abasoba mu 20. alina abakyala 4 n’abaana abasoba mu 15 abeetaaga obuyambi okuva lwe yawambibwa. Abemmundu bawambye omusuubuzi w’e Masaka Embeera ku kyuma kye ekya kasooli tetambula bulungi okuva lwe baamukwata.
Mariam Nazziwa mukyala wa Lugemwa omuto ng’ali wamu ne banne yategeezezza nti abaana abamu abalina okudda mu masomero tebanatandika olw’obuzibu bw’ensimbi. Embeera eno ebawalirizza okuddukira ku poliisi e Masaka ne baloopa kyokka tewali kye