Poliisi ye Katwe ekutte Musoke nga ono musuubuzi kubigambibwa nti yasse mukazi we Agnes Birabwa nga amukuba masasi omwaka oguyise nga 28-July-2017.
Musoke abadde yadduka nga yekweka e Rakai Poliisi gyeyamukwatira nazzibwa e Kater. Ono yaleteddwa okuyamba kukunooya emmundu eyakozesebwa mu ttemu lino.
Kigambibw nti Poliisi yayaziza ennyumba ye okunoonya kubikwatagana n’obwanannyini bw’emmundu eyakozesebwa okutta.
Poliisi yasanze ebiwandiiko bya License ya Pistol eyamusangiddwa nayo mu makaage e Kawempe nga kiraga nti yagifuna mu makubo matuufu.
Musoke yakirizza nti yakuba mukyala we esasi nti naye mubutanwa oluvannyuma lw’okuyombagana okwaliwo wakati we ne mukyala we n’abavubuka beyayita okubaawo nga bagonjoola ensonga zaabwe ez’amaka.
Ono agamba nti obuzibu bwava ku mugenzi okubba obukadde 300 nga ali Egypt gyeyali agenze okusuubula. Musoke bweyadda yasanga accounts ze zonna nkalu nga mukyala we tasobola kunnyonyola gyezalaga.
Ono okuva lweyazza omusango abadde yekweka e Kamengo mu Rakai era nga Poliisi yazudde ne Pistol gyeyakozesa okukuba mukyala we esasi.