Omutaka Gabunga ow’ekika kye Mmamba Mubiru Ziikwa, ayanjulidde Katikkiro Charles Peter Mayiga Olukiiko olufuzi oluggya olw’ekika.
Kino kidiridde olw’abamu abaali ku lukiiko olukadde okugenda mu mawulire nebaasanguza ebyama by’ekika kino.
Mu kwogerakwe, Katikkiro ategeezezza nti, nga wabaddewo obutali bumativu mu Bika, kirungi ensonga egonjoolwe mu Kika munda.
Akubirizza ebika byonna bibeere nentereeza y’obukulembeze nga eviira
ddala Waggulu Ku kasolya okukka wansi ku nnyumba. Abasabye bettanire
enkola y’ekittavu eyambye ennyo Ebika okwekulaakulanya.
Era abeebazizza ku nteekateeka ya Gabunga Education Centre egendereddwamu okusomesa Bazzukulu ba Gabunga.
Mu Kika kye Mmamba mwemuva Omutaka Ssemanobe akola emikolo ku Mulangira agenda okutuuzibwa ku Namulondo e Naggalabi.