Omutembeeyo atategeerekese mannyage yeggye mu bulamu bwensi eno bweyeesudde okuva ku kizimbe waggulu ekya Nana Center ekisangibwa mu kibuga wakati okwolekana ne paaka empya mu ttuntu lya leero naagwa naakalirawo nga kiteeberezebwa nti aba KCCA bamuwambye ebyamaguzubye byabadde atembeeya .
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti aba KCCA baawambye ebyamaguzi by’ono nga kati mugenzi ku ssaawa nga bbiri ezokumakya . Wabula alinze okubimuddiza nga buteerere era ku ssaawa nga munaana omugenzi abuuse okuva ku mwaliriro ogwokusatu neyekkata ku ddimwa era naafiirawo .
Tabadde nakiwandiiko kyonna kimwogerako okuggyako emitwalo musanvu (70.000) gyabadde nagyo mu nsawoye .
OC wa CPS Atuhaire Gerald akulembeddemu abaserikale okuggyawo omulambo akasasizza enjega eno .