Ensi n’ensi ekuluumulukuka okuva mu bitundu ebyenjawulo mu disitulikiti ye Buyende okwelorera ku muti ogwatemwa emyaka esatu emabega nga guzzeewo nga bwegwali.
Omuti guno guli mu maka g’omusumba Irene Mukose ku kyalo Nkondo mu ggombolola ye Ndorwa mu Disitulikiti ye Buyende nga abeelabiddeko n’agaabwe bagamba nti omuti guno gwatemwa era abatuuze nebatemako n’enku wabula kibabuuseeko bwebasanze nga guzzeewo.
Wabula abamu bagufudde mugano nga basomboola bintu okuli enkoko, embuzi kwesabira bugagga namikisa.