omutuuze abadde ayokya ebisibu ayokezza omusiri gwa ssentebe ogw’ennyanya

Musa Mukwaya akwatiddwa Poliisi y’e Lwabenge kubigambibwa nti yakoleezezza omuliro ogwayokezza omusiri gw’ennyanya. Godfrey Gyagenda nga y’e Ssentebe wa LCI ow’e Kiragga ye yaloopye Mukwaya olw’okumusaanyizaawo omusiri gwe ogw’ennyanya eziwerako yiika bbiri.
Mukwaya mukwewozaako ategeezezza nti teyagenderedde kwokya nnyaanya wabula omuliro gwamusinzizza amaanyi bweyabadde ayokya ebisubi mu kalittunsi gw’abadde ateekateeka okulimiramu sizono ejja.

Leave a Reply