Omuvubuka atemyetemye muka kitaawe n’amutta – Ssembabule

Ekikangabwa kigudde ku kyalo Nsangala ekisangibwa mu ggombolola y’e Mateete mu Disitulikiti y’e Ssembabule omuvubuka bwakkakkanye ku muka kitaawe n’amuteemateema.

Nsana Steven ow’emyaka 30 y’akkakkanye ku muka kitaawe Naalongo Nalubega Rose ow’enyaka 45 n’amutemaatema n’oluvannyuma omulambo n’akukumako omuliro neguteta era n’amalamu omusulo nga kigambibwa nti entabwe eva ku butakkaanya  ku nsonga z’ekibanja.

Police oluvannyuma ezze n’eggyawo omulambo n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaliro ly’e Ssembabule nga bwekola okunoonyereza. Lino litusakiddwa Margaret Kayondo .

Leave a Reply