Vincent Sserunga nga muvuzi wa Boda Boda mu kabuga k’e Bukalagi mu Gomba yeyakubiddwa omusirikale wa Poliisi esasi eryamutiddewo. Kigambibwa nti bano bekalakaasizza oluvannyuma lw’omubaka wa Kyaddondo okuteebwa kkooti y’amaggye ate naddamu okukwatibwa Poliisi ku misango gy’okulya mu nsi ye olukwe.
Abavubuka ababadde bataamye obugo okuva mu Gomba Bobi Wine gy’azaalwa bebesuddemu akambayaya nebaziba enguudo zonna nga balaga obutali bumativu bwabwe olwa Poliisi okuddamu okukwata omwana waabwe.
RPC w’ettundutundu ly’e Katonga Joseph Musana, agamba nti Sserunga yakubiddwa omusirikale wa Poliisi Jonny Nteziramira bweyabadde agezaako okwetaasa nga amulumbye n’ejjambiya n’embazzi.