Waliwo omuwala Munnayuganda eyali yatwalibwa e bweru nga asuubiziddwa omulimu omuzito kyokka ate bweyatuukayo n’aweebwa mulimu omulala n’okutulugunyizibwa, avuddeyo nga yeekokkola ekyeyo .
Ritah Nakiganda myaka 26 nga abeera ku kyalo Kiryokya mu Ggomboloya y’e Kalangaalo mu Disitulikiti y’e Mityana, attottodde engeri gyeyatwalibwamu mu ggwanga lya Oman ng’eno yali yasuubizibwa okukola nga Mangeja wa Wooteeri nti kyokka kyamubuukako bweyatuuka eri nebamutegeeza nga bw’agenda okukola nga mukomba bbookisi .
Ono agamba nti ebizibu byeyalabirayo njolo omwali okukoozebwa akagiri, okummimwa akadda eri olubuto ssaako n’okugaanibwa okudda okwa boobwe okutuusa ate Katonda bweyamubikkako akasubi n’afuna bannne abaali nabo batulugunyizibwa n’akomawo nabo .
Nakiganda alabudde bawala banne wano mu ggwanga okukwata empola ensonga ez’okutwalibwa ebweru n’obwegendereza kubanga bayinza okukifuuwa nga bakizza munda .