Omuyizi omu afiriddewo nomulala natwalibwa mu ddwaliro e Mulago nga biwala ttaka oluvannyuma lwokugwa ku kabenje enkya ya leero. Akabenje Kano kaguddewo mu bitundu bye Naluvule ku luguudo oluva e Kampala okudda e Hoima.
Omuyizi afudde ye Precious Kyohairwe 11 ate nga muto we Praise Mulindwa amenyese okugulu nga bano babadde basomera ku Toto kindergarten school e Gombe Kayunga mu Wakiso.
Abatuuze bategezezza nti mmotoka ekika kya magulu kkumi nnamba UAU 732 V etomedde boda boda nnamba UDQ 046R abayizi bano kwe babadde batambulira okukakkana ngomugoba wa boda boda agudde mu mufulejje wansi ate omu ku bayizi nabetentebwa omutwe.
Ddereeva wa lukukukana olulabye nti atomedde abantu nasalawo okuzza mmotoka emabega nayagala okusanyawo abalala era taxi nnamba UAU 832B ebadde esimbye ku kkubo nemwekiika okumuremesa okubakoona olwo abatuuze ne batandika okumuwerekereza amayinja.
Ono poliisi okuva e Naluvule yemutasizza nemuddusaawo ku batuuze ababadde bataamye. Akabenje Kano kareesewo akalippagano k’ebidduka okumala essaawa nnamba okutuusa poliisi yebidduka lwejjewo mmotoka zino.
Nannyini taxi eyekiise mu kkubo nga ye Robert Mulindwa, aguddewo ekigwo bwe yetegerezza abaana batasizza nga be babe bennyini.
Nnyina w’abaana bano Barbara Nakinobe mu mulanga omungi ategezezza nti amawulire gakabenje agategdde agenda ku ssomero gyasomesa era tasoose kukkiririzaawo.