Ssessanga Dan myaka 12 agambibwa okukubwa omusomesa n’amuyisa bubi nnyo mu ssomero lya Lubanga Primary School e Kalangala afudde.
Omusomesa Dickson yamukkakkanako n’amuligita emigoba nte n’amutuusako ebisago ebyamaanyi afudde oluvannyuma lwa bazadde be okubulwa ensimbi ezimujjanjaba mu ddwaliri gyebaali bamujjanjabira nebamuzza awaka .
Ssesanga w’afiiridde nga bamuddusizza mu kalwaliro akasangibwa ku kyalo Kyannamukaaka.
Kitaawe w’omugenzi Sserwanga Charles agamba nti omwanawe omusomesa ono yamusanga bakaayanira ekisiimuula olubaawo ne munne n’amukwata n’amukuba nti era okuva olwo mutabaniwe kweyaggya obulwadde okutuusa lwafudde.