Omuyizi wa Makerere ng’ono ali mu mwaka gwe ogwokuna nga asoma busawo, Isaac Byaruhanga agezezaako okwetta oluvannyuma lwa Prof. Barnabas Nawangwe Vice-Chancellor okumugoba awamu ne munne Arnold Muganga ku Ssettendekero ono.
Bano abavunaana okutandika okulwana bwebaali ku Kimeeza nga abavuganya ku bwa Guild President okuli Margaret Nattabi owa National Unity Platform ne Sula Namwoza banoonya akalulu ekyaviirako abayizi okulwanagana okukakkana nga omu alumuziddwa byansusso naweebwa ekitanda.