Lillian Rukundo 23, nga muyizi ku Uganda Christian University (UCU) ateereddwa ku kakalu ka Kkooti olw’embeera ye ey’ebyobulamu etali nnungi. Ono abadde ku alimanda mu kkomera e Luzira gyeyasindikibwa oluvannyuma lw’okuvunaanibwa omusango gw’okusasanya akatambi ak’obuseegu mweyalabikira nga yetuusa ku ntikko y’omukwano.
Olunaku lw’eggulo yabadde alina okulabikako mu kkooti wabula abasirikale bamakomera nebategeeza omulamuzi nga ono bweyabadde omulwadde ennyo nga ali mu ddwaliro lya Luzira health facility.
Omulamuzi omukulu mu kkooti ya Buganda Road Mary Babirye yategezeddwa nti ono atawanyizibwa ekirwadde kya Asthma era nga yagudde ekiggwo bweyabadde ayingira bus ya’amakomera. Omulamuzi yabalagidde okumuleeta olunaku olwaleero n’ebiwandiiko kwasabira okuteebwa kukakalu era bwatyo namutta ku kakalu ka kkooti akatali kabuliwo ka mitwalo ataano (500,000/=) ate abo abamweyimiridde nebasabibwa okuwaayo bond za bukadde kumi (10,000,000/=)
Kinajjukirwa ono abadde yasindikibwa ku alimanda e Luzira nga avunaanibwa omusango gw’okusasaanya akatambi ak’obuseegu mwalabikira nga atigatiga ebitundu bye ebyekyaama neyetuusa ku ntikko y’omukwano ne kigendererwa eky’okuleetera omutengetero gw’omukwano eri oyo akalaba.