Omwaka gw’embwa mu ba China gusonze

Abachina mu Yuganda batandise okwegatta ku nsi yonna okwaniriza omwaka gwabwe gwebayita omwaka gw' Abachina ogw'embwa.

Guno gwe mwaka ogusinga okuba ogw'ebyafaayo mu China era nga mu mwaka guno,  biba bikujjuko byennyini ebiwedde emirimu era nga wano mu Yuganda gujja kutongozebwa nga ennaku z'omwezi 16 Mukutulansanja omwaka guno era guyitibwa SRING FESTIVAL. 

Guno gubadde n'ebyafaayo bya myaka 4000 era nga amaka agasinga lwegasisinkana okubeera awamu,  nebalongoosa amaka gaabwe era nga bagamba nti mukissera kino webeegoberako ebintu byonna eby'ebisiraani nga bakuba ebide,  batulisa ebiriroliro okwetoloola amawanga gonna. 

Mu nteekateeka eno Abachina bagenda basindikira bannaabwe ebbasa ezirimu ensimbi zebayita ez'emikisa nebazigabira abana . Omwaka gwabwe guno gukwatira ddala emyezi 12 naye nga bagutambuliza ku bisolo omuli : Engamiya,  Embwa,  Emisota,  obumyu,  Endiga, Enkima n'ebisolo ebirala 

Leave a Reply