Omwami w’Essaza Bugerere atuuziddwa wamu n’Abamyuka be atuuziddwa ye Samuel Ssemugooma Ssengooba, Omumyuka we asooka Hajji Bashir Ziraba, n’Omumyuka Owookubiri, Mugerwa Patrick. Obulombolombo n’emikolo egy’obuwangwa egigendera ku mukolo gwokutuuza omwami wa Kabaka, gyonna gigobereddwa. Bwabadde atuuza Mugerere, Minisita Joseph Kawuki entanda gyamusibiridde agyesigamizza ku makulu g’effumu ng’ekimu ku byokulwanyisa ebikozesebwa mu kutaasa Nnamulondo. Muno mulimu, Mugerere okufuba okukuumira abantu ba Kabaka ku mulamwa ebbanga lyonna nga takkiriza bannakigwanyizi kugwagwawaza bantu ba Kabaka, okufuba okutuusa ku bantu amawulire amatuufu agakwata ku Kabaka nokubategeeza nti Nnyinimu mwali alamula, era abantu bakimanye nti Kabaka naye muntu akosebwa nga abalala mu by’obulamu, nti Kabaka ayambibwako Katikkiro gweyelondedde. Era amukuutidde okulwanyisa abo abavvoola Kabaka, naabo abagootaanya enteekateeka z’obwakabaka omuli, emisinde, emipiira gy’Amasaza n’endala. Amukubirizza okutwala obuvunaanyizibwa okugatta abantu ab’amawanga agenjawulo abali mu Bugerere awatali kusosola beewale ebintu ebibakoonaganya kubanga Kabaka wa bantu ba Buganda bonna. Mu mwezi gwa Kafuumuulampawu ogwomwaka guno, Ssaabasajja Kabaka yasiima naakola enkyuukakyuuka mu baami b’Amasaza, era Oweek Samuel Ssemugooma Ssengooba yadda mu bigere by’omugenzi kati James Ssempigga.
#ffemmwemmweffe