Police y’e Luweero eriko omusajja gwegombyemu obwala ne nnyina nga bano kigambibwa nti babadde beeyita abasawo ab’ekinnansi nga muno mwebayita okukkira abantu nebabawaayo nga ssaddaaka.
Abaakwatiddwa ye Mayanja ow’emyaka 30 ne nnyina Margret nga bano ba ku kyalo Makonkonyiga ekisangibwa mu ggombolola y’e Kamira mu Disitulikiti y’e Luweero.