Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze mu ggombolola y’e Kayonza mu Disitulikiti y’e Kanungu omukyala wamu n’omwana we bwebakubiddwa laddu n’ebattirawo
Ababiri bano kati abatakyateganya bafumbi be; Peninah Katushabe ne muwalawe Racheal Turyakira ow’emyaka 15 nga ono abadde muyizi ku ttendekero lya Kihihi Vocational Centre erisangibwa mu kabuga k’e Kihihi .
Omu ku b’oluganda lwa Katushabe agamba nti Katushabe laddu emukubidde mu nnyumba ate Turyakira eyabadde akomyewo awaka okulya Easter emukubidde bweru ng’alongoosa ssapatu .