Abadde omwogezi w’ekitongole kya Police AIGP Andrew Fellix Kaweesi akubiddwa amasasi agamuttiddewo abantu abatannategeerekeka enkya ya leero okuliraana amaka ge e Kulambiro mu Munucipaali y’ e Kira.
Kaweesi akubiddwa wamu n’omukuumi we Erau Keneth ssaako ne ddereeva we Geoffrey Mambewa bwebabadde baakafuluma okuva mu kikomera , abantu ababadde ku Bodaboda nebabakuba amasasi agabaserengesezza ekalannamo.
Abeerabiddeko n’agaabwe nga enjega eno egwa bagamba nti bawulidde ebyasi ebyamaanyi kumpi ddala nga waakava Ku maka ga Kaweesi era okwetegereza nga ye ne baabadde nabo babalumisizza ekivu era abakikoze nebadda ku Bodaboda nebamalamu omusulo.
Andrew Fellix Kaweesi yayingira ekitongole kya Police mu 2001 oluvannyuma lw’okutendekebwa Ku ttendekero lya Police e Kibuli, oluvannyuma lw’emyaka esatu ag’ali mu Police, yalondebwa okuba omuyambi wa Ssaabapoliisi General Kale Kayihura n’oluvannyuma n’asuumusibwa eddala n’aweebwa ekifo ky’okukulira ettendekero lya Police erya Kabaliya Police Training School, eyo Kaweesi gyeyava n’afuuka omuduumizi wa Police mu Kampala n’emiriraano, n’asuumusibwa n’eddala n’aafulibwa AIGP.
Kaweesa era yakulirako ebikwekweto n’oluvannyuma n’alondebwa okuba nga y’akulira ensonga z’abakozi mu kitongole ekya Police, wabula nga kati waafiiridde nga y’abadde omwogezi w’ekitongole kya Police. Kitalo !