Minisita Henry Okello Oryem; “Abantu babadde n’essuubi eritagambika mu Jacob Oulanyah, nti agenda kuleetawo enkyuukakyuuka ey’amaanyi mu Mambuka ga Yuganda. Abadde yakatandika ku kino. Nebwatwaliwadde omuntu ava mu Acholi ekifo kya Sipiika, Oulanyah tazikkawo, abadde wanjawulo.
Sipiika Among yagezaako buli ekisoboka, wabula essaawa ya Oulanyah erabika yali etuuse. Kati okwagala kwaffe okutuufu eri Oulanyah kwakweyoleka ku lwokutaano nga tumaze okumuziika. Ekyamaanyi kyetusobola okukola okujjukira Oulanyah kwekwagala abaana be.”