Abadde Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah L’Okori enteekateeka ziraga nti wakuziikibwa ku lwokutaano nga 08-April-2022 mu Disitulikiti y’e Omoro era nga okusinziira ku Ssemateeka luno lugenda kuba lunaku lwa kuwummula mu Ggwanga lyonna.
Ku Ssande nga 3 ne Mmande nga 4 omubiri gwe gwakutwalibwa mu makaage e Muyenga olwo ku Lwookubiri nga 5 gutwalibwe mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga okumusiima emirimu gyakoledde Eggwanga.
Ku Lwokusatu nga 6 omubiri gwe gwakutwalibwa mu Kisaawe e Kololo mukukungubaga okw’Eggwanga okwawamu, olwo ku Lwokuna nga 7 gujja kutwalibwa e Lango abaayo okumukubako eriiso evannyuma, n’oluvannyuma aziikibwe enkeera ku Lwokutaano nga 8.