Kintu Robert myaka 57 omutuuze ku kyalo Budantemwa mu ggombolola ye Butayunjwa mu Disitulikiti ye Kamuli akubiddwa mizibu naafa lwakukwatibwa na Mbuzi wamu ne nkoko ebibbe.
Abatuuze bamuguddeko ekiyiifuyiifu nebamukuba emigoba nte egimuserengesezza e kalannamo nga ebintu byabbye bibalirirwamu akakadde kamu n’ekitundu.
Police ezze bukubirire neggyawo omulambo n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaliro lye Kamuli nga bw’ekola okunoonyereza. Kitalo ekyo.