Abatuuze boomu Divizoni y’e Wakisi esangibwa mu Disitulikiti y’e Buyikwe baguddemu ekikangabwa enkya ya leero, bwebagudde ku mulambo gw’omusajja atemera mu gy’obukulu 22 omuvuzi wa Bodaboda nga yattiddwa abantu abatannategeerekeka era ne bakunta ne Pikipiki ye.
Tadeo Sserugo kiganbibwa nti abatemu bano baamuggye ku ssiteegi ye w’akolera ku makya ga leero wabula oluvannyuma n’asangibwa nga attiddwa era nga omulambo gwe gusuuliddwa ku kyalo Wabikookooma ekisangibwa mu ggombolola y’e Malindi.
Wabula oluvannyuma abatuuze batemezza ku Police n’eggyawo omulambo neegutwala mu ggwanika ly’e ddwaliro ly’e Jinja bongere okugwekebejja.