Munnakibiina kya NRM era omuwagizi waakyo lukulwe mu Disitulikiti y'e Jinja afiiridde mu kkomera ly'e Kirinya gyeyasibibwa oluvannyuma lw'okulemererwa okuliyirira owa FDC eyamuwangula mu kkooti mu musango gw'akalulu .
Patrick Bakumweire ow'emyaka 50 abadde omukunzi omukuukuutivu owa NRM mu Jinja nga yavuganya ku kifo kya Ssentebe w'eggombolola y'e Budondo n'awangulwa Wabika Ayubu owa FDC kati z'embuyaga ezikaza engoye. Yali yatwala Ayubu mu kkooti wabula nebamusingirayo era n'alagirwa okuliyirira munne obukadde ataano mu bubiri (52 Million) eza Yuganda wabula nezimulemerera era n'asindikibwa mu kaduukulu k'e Kirinnya akulunguleyo emyezi 16 gy'afiiridde, afudde enkya ya leero era abakulira ekkomera lino omulambo nebagukwasa abooluganda lwe okuziika
Wabula omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku bibiina by'obwegassi, Gume Fredrick Ngobi akyaliddeko lw'omuhenzi era n'ategeeza nti NRM egenda kuvunaanyizibwa ku by'okuziika byonna