Owa NRM yagulira abalonzi ku IUIU Female Campus

Abantu abagenze okulonda Omubaka omukyala akiikira abakadde ow’eggwanga lyonna kigambibwa nti buli omu yaweereddwa emitwalo 4 okulonda Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRMPeggy Joy Waako.
Waako nga Social Worker eyawummula era nga amanyiddwa nnyo mukulwanirira eddembe ly’abakadde yabadde avuganya neyaliko Minisita Maria Matembe. Okusinziira ku byavudde mu kalulu Waako yafunye obululu 640 ate ye Matembe nafuna 56 ku balonzi 703 abalonze.
Abamu ku balonzi abatayagadde kwatuukiriza mannya gaabwe bategeezezza omusasi waffe nti bafunye ssente. Okusinziira ku bano bagamba nti bammemba aba Executive 5 okuva mu buli Disitulikiti baweereddwa emitwalo 20.
Omu ku balonzi yategeezezza nti; “Ku myaka gyange sisobola kulimba. Batuwadde ssente kituufu. Batusasulidde awokusula nebyokulya ku lwokuna.” Omulala yategeezezza nti mu kulonda okwababaka abamasekkati buli omu yafuna obukadde bubiri okuva mu baali besimbyeewo kwogatta ne ssente ezensako ezalina okuteweebwa.
Abalala basatu okuva mu Mumambuka n’ebuggwanjuba bbo baweereddwa emitwalo 4. Returning Officer wa Kampala Fredrick Muwaya Tibakuno agamba nti okwemulugunya abakufunye okuva ewa Miria Matembe nti wabula era bewuunyizza engeri Munnakibiina kya NRM gyeyakosezzaamu ekifo ekyapangisibwa akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde okutuuzaamu olukungaana nga Akakiiko tekategedde.
Okusinziira ku Pulogulaamu, abalonzi balina kutuuka lwakuna akawungeezi bagende wabalina okusula n’oluvannyuma bakeere ku IUIU Female Campus ku lwokutaano ku makya. Wabula Waako wamu ne b’agenti be basisinkana abantu bano ku kifo webalina okulondeera mu ttuntu ku lwokuna okutuusa mu matumbi budde gyebabaweera enguzi.
Abalondoola ebyokulonda abaliwo ku kifo kino ku lwokuna bagamba nti byonna babiraba naye nebategeeza nti bakufulumya ekiwandiiko ekitongole mu maaso awo.
Credit:

Uganda Radio Network

URN

Leave a Reply