L/CPL. Bernard Okumu 44, nga mujaasi mu ggye lya UPDF mu nkambi y’amaggye e Luwunga Kakiri yasindikiddwa mu kkomera e Luzira amaleyo emyaka 40 oluvannyuma lw’okukiriza nti ddala yatta mukazi we Annet Kebirungi.
Lt. Gen. Andrew Gutti Ssentebe wa Kkooti y’amaggye yeyawadde Okumu ekibonerezo era nga yasinzidde ku kkiriza kwe okumuwa ekibonerezo.
Yamutegeezezza nti omusango gwe yazza munene nnyo ng’omuntu aguzzizza bwe gumusinga naye asalirwa gwa kufa wabula kkooti yamusaasidde kubanga alabika yeenenyezza kye yakola.
Gutti yagambye nti Okumu oluvannyuma lw’okukkiriza omusango baamusaliddeko ku kibonerezo ne bamusiba emyaka 40 wabula wa ddembe okujulira ssinga abeera tamatidde na nsala ya kkooti eno.
Okumu yakkiriza nti nga July 6, 2018 e Luwunga mu Barracks e Kakiri , Okumu yatta Annet Kebirungi oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya. Kigambibwa nti yamutemaatema ebiso omulambo n’agusuula mu nsiko eyali eriranyeewo.
Nga wayise ennaku ntono, Okumu yagenda ku Poliisi n’agitegeeza nga mukazi bwe yali awambiddwa nga wayise wiiki nnamba nga tamulaba.
Oluvannyuma omulambo gwa Kebirungi gwazuulibwa mu nsiko nga gutandise okuvunda era Okumu bwe yakwatibwa n’akkiriza nti ddala yamutta kubanga yali amusuubiriza okubeera n’omusajja omulala.