Namukadde ow’emyaka 60 ategeerekeseeko erya Byarugaba asangiddwa nga alengejjera ku muti waggulu era nga z’embuyaga ezikaza engoye .
Ekikangabwa kino kigudde ku kyalo Bududu – Nawanyagi mu Disitulikitiye Kamuli . Kitegeerekeseeko nti omusajja ono yasenga ku kyalo kino emyaka 20 emabega ng’abadde yafuna Namwandu gw’abadde naye nga mukyalawe .
Police ezze bukubirire n’etwala omulabo mu ddwaliro okugwekebejja nga bwenoonyereza ekiviiriddeko omukadde ono okwejja mu budde .