Ekibinja ky’abalamazi 480 okuva e Congo ne Kasese omuli ne namukadde ow’emyaka 70 kituuse e Mubende leero naye nga enswera bagigobya lulimi.
Abalamazi bano bakulembeddwamu Anthony Lubuya Wonki era nga bano baasimbula e Congo nga 18.05 .2016 ne beegatta ku bannaabwe okuca e Kasese nga 20.05.2016 .
Abalamazi bano mu kiseera kino bagumbye ku Ttendekero lya basomesa erya Mubende National Teacher’s College webagenda okusimbula akawungeezi beeyongere okutuuka e Namugongo .
Namukadde ow’emyaka 70 ono Zahura Rose ategeezezza nti guno gwe mulundi gwe ogw’ekkumi ng’alamaga nti era tafunanga buzibu bwonna mu kutambula kuno .
Mu balamazi bano okuva e Congo, Kasese , Fortportal , Kyegegwa ne Kyenjojo mulimu n’omwana omulenzi ow’emyaka 13 Mugisha Albert eyavudde e Kasese .