Omwana wa myaka 13 afiiriddewo mbulaga oluvannyuma lw’okukubwa amasannyalaze ku ssomero lya Mitala Maria Seminary e Buwama.
Noah Sserunjogi nga mwogezi wa Police eyo atutegeezeza nti omwana ye Ssevume Isaac abadde yagenze kuwummula mu bantu be wabula abadde agezaako kussaako ebbinika mu musannyalaze naye nga waliwo waya eziri wabweru ezibadde amasannyalaze n’azikwatako negamukuba n’akalirawo.
Omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago gyegunaava bannyinigwo bagutwale okuguziika. Wabula Sserunjogi agamba nti Abasisita abaddukanya essomero lino bayitiddwa ku police bannyonnyole ku kibaddewo.