Minisita w’Obuwangwa, Ennono, n’Obulambuzi, Oweek David Kyewalabye Male atongozza enteekateeka y’okuwandiika abalungamya b’emikolo mu Buganda. Enteekateeka eno agitongolezza ku Bulange bwabadde asisinkanye abalungamya (aboogezi) b’oku mikolo naddala egy’okwanjula.
Oweek Kyewalabye asinzidde wano nalabula nti teri mwogezi yenna agenda kukola mukolo gwonna nga gwa nnono nga simuwandiise era oyo anaakwatibwa ajja kuvunaanibwa.
Okusinziira ku Oweek Kyewalabye, abalungamya bagenda kusooka kusomesebwa ku nnungamya y’emikolo egitalimu naddala egy’okwanjula oluvannyuma baweebwe satifikeeti eraga nti babanguddwa era akkirizibwa okukola omukolo ogw’okwanjula.
Oweek Kyewalabye agambye nti, “ekintu kyonna ekitaliiko mateeka tekiba namuwendo, n’olwekyo olw’okuba nti emikolo gy’okwanjula gya Nnono,gya muwendo nnyo mu Buganda”.
Agasseeko nti tebagenda kukoma ku mikolo gya kwanjula gyokka, wabula, ennyimbe, okuziika, n’abasawo b’ekinnansi, nagyo gyakulungamizibwa entambuza yagyo.
Obwakabaka okuvaayo n’enteekateeka eno kiddiridde okwonooneka y’enkwata y’emikolo gino nga kisuubirwa nti abalungamya bebatakoze kimala kulaga nkola ntuufu eri abo ababawa emirimu.