Omwana omuwala wa myaka 18 akwatiddwa police nga abbye Omwana wa myezi esatu e Kibuku mu bitundu bye Bukedi.
Nabwire Hadijah omwana yamubbye ku mwana munne eyabadde amusitudde. Yalimba bba nti ali lubuto era abadde waakuwaayo omwana ono eri omusajja nti gw’azadde.
Kinajjukirwa nti abaana abasoba mu bana babbiddwa mu kitundu Kino.