Nakiyingi Allen 30, nga mutuuze w’e Kimwanyi Nakwero kigambibwa nti yandiba nga yattiddwa muganzi we namuziika mu muzigo mwabadde abeera.
Nalunkuuma Ritah muganda w’omugenzi agamba nti Nakiyingi yababulako ku lw’omukaaga nga 27 – July okutuuse leero lwebazudde omulambo ggwe.
Kanyike Deogratious Ssentebe wa LC1 owa Wambaale Cell omulambo gwa Allen wegusangiddwa agamba nti kituufu gwazuuliddwa mu kitundu kye nga guzingiddwa mu buveera.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agamba nti muganzi wa Allen eyategerekeseeko erya Julius ye yadduse era nga kati Poliisi eri ku muyiggo.