Musajja mukulu myaka 40 mu Disitulikiti y’e Kamuli awakanidde okunywa obuveera bwa Waragi makumi ana , afudde yaakanywako kkumi . Obuveera buno bwakazibwako lya Malaaya .
Isabirye Moses nga abadde mutuuze ku kyalo Busura abadde ekiri mu Kamuli abadde mu mpaka za Waragi ne banne nga basimbyewo ssente nga agamba nti ye obuveera makumi ana tabulabamu kantu era olunyweddeko kkumi n’ataawa era babadde bamuddusa mu ddwaliro e Mulago n’akutuka .
Police e Kamuli erabudde abantu ku bikolwa ebifaananako bwebiti era n’ekkiriza bannannyini bategeke okuziika .