Bakansala ku district y’e Wakiso batabukidde Councilor munaabwe Zamu Kyeyune owa Nabweru Division abadde asituse okwogera ku nsonga ya kabuyonjo ku kitebe kya District bwafundikidde nga ayogera ku kifaananyi kya Kabaka okuba nga tekirabika nga ate kikadde bwokigerageranya ku kya President.
“Ssebo Speaker, kantwale omukisa guno okubuuza Ssentebe w’olukiiko luno lwaki ekifaananyi kya Kabaka ekitimbiddwa mu chamber kisiwuufu kwekyo ekya Bosco.” Bweyayogedde nga ategeeza ekifaananyi kya President Museveni.
Kino kyaleetedde ba Councilor ba NRM okutandika okulwana nga bakasuka obutebe, era oluvannyuma basabye Speaker alagire Kyeyune amenyewo kyeyabadde ayogedde.
Wabula Speaker yabagambye ekyo kyabadde tekiremesa lukiiko kugenda mu maaso ekyaleetedde aba NRM okwongera okuva mu mbeera era nebekandagga nebafuluma olukiiko.