Paasita Fred Tabu 50, ow’ekkanisa ya Great Hope Ministries e Mukono
atemeza mabega wa mitayimbwa mu kaduukulu ka Poliisi y’e Sseeta ku
misango egy’obufere. Abakyala abeegattira mu kibiina kye ekiwola
n’okutereka ensimbi ekya ‘Teap Uganda’ bamulumiriza okubaggyangako
ensimbi ne yeefuula azitereka kyokka ng’azikozesa bibye era nga
bamubanja obukadde 39.
Baategeezezza nti, ekiseera kyatuuka okufuna ssente zaabwe nga Paasita Tabu takyalabikako ng’abasindikira ew’omuwala ayitibwa Barbara Namatembe eyazisoloozanga, ng’ono ye yabategeeza nti ssente zaabwe ziri mu mikono gya mukyala wa Paasita, Perusi Kiwala.
Hasifa Namuyomba abadde akola ng’omuwandiisi w’ekibiina kino ku kyalo
Nantabuulirwa yagambye nti, baatandika okumuteresa ensimbi zaabwe mu
mwaka gwa 2018 okuva mu January nga baali bakuzifuna mu December nga 21.
Pr. Tabu yakwatiddwa oluvannyuma lw’okwetwala ku Poliisi y’e Sseeta
kyokka nga yasoose kubuuza oba abakyala tebaliiwo ne bamukakasa nti
tebaliiwo.
“Tabu twasuubira nti, tusobola okumwesiga ne tukunga
bakyala bannaffe abawera 89 ne tumuteresa ssente zaffe. Abamu tukola
emirimu emizibu okufuna ssente era twali tuzeesunze okwekulaakulanya
kubanga abamu tubadde tusuubira okufuna ezisoba mu kakadde akamu”,
Namuyomba bwe yagambye.
Namuyomba yategeezezza nti beewunyizza
omutima gwa Pr. Tabu nti mu kiseera we baamunonyeza abawe ssente zaabwe
ng’ababuzeeko, baasalawo okukwata abakozi be basatu okuli, Barbara
Namatembe, David Mugabi n’omulala gwe bataategedde mannya ne babaggalira
kyokka n’abeegaana nti, tabatumangako ne yeerema okubalambula yadde
okubaleetera emmere n’amazzi.