Don Nasser aziddwayo e Luzira
Don Nasser aziddwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 23-10-24 oluvannyuma lwa Uganda Police Force okutegeeza nti ekyanoonyereza ku bigambibwa nti akulusa abantu wamu nokusobya ku baana abawala. Bya Christina Nabatanzi #ffemmwemmweffe
Mungoba muleete ani ansinga – Dr. Mukiza
Executive Director wa Uganda Bureau of Statistics Dr. Chris Ndatira Mukiza avuddeyo ku nsobi ezeyolekeddemu alipoota y’okubala abantu eya National Population and Housing Census-Uganda wiiki ewedde; “Ensobi zikolebwa bantu buli lunaku. Ne mu maka gaffe, tukola ensobi nnyingi…. nabwekityo sigenda kulekulira. Nkyaweereza Ggwanga lyange lyenjagala ennyo. Mukimanye nti nze omu ku babalirizi abansinga. Mwagala kufuna […]
Okubeera n’omukyala nga temuli bafumbo mu mateeka gwandifuuka omusango
Mu bbago ly’obufumbo erya Marriage Bill 2024 eryatwalibwa mu Palamenti nga 3-October ebiteeso bingi ebyeyolekeramu omuli; 1. Okubeera n’omuntu nga temuli mu bufumbo bwamateeka/ okwewasa mu butongole musango. Oyo omusango gwegusinga asasule engasi yabukadde 10 oba okusibwa emyaka 3. 2. Okwefuula n’okumenya ekisuubizo kyokuwasa omuntu musango. Ekibonerezo oliwa ensimbi oli zasaazanyizza. 3. Singa muba musazeewo […]
Sipiika Luyombya adduukiridde essomero eryakwata omuliro
Sipiika wa Kkanso y’e Nakawa Godfrey Luyombya era nga yemutandisi wa Godfrey Luyombya Foundation, adduukiridde essomero lya Side View Nursery and Primary School erisangibwa e Mbuya mu Nakawa eryakwata omuliro gyebuvuddeko ebintu bingi nebyonoonebwa omwali n’entebe. Ono atonedde essomero lino n’entebe 100 okwo kwogatta n’ebintu ebirala ebikozesebwa abayizi mu kusoma. #ffemmwemmweffe
Nze sinywa mwenge – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Nze sinywa mwenge yadde, naye mpulira nti abantu bagwagala nnyo. Sisobola nakukwata ku ccupa yagwo y’esonga lwaki nsobodde okuweza emyaka 80 egyobukulu. Osobola okwongera omutindo ku matooke mu ngeri endala so ssi kugakolamu mwenge kyokka. Ebintu byonna ebikozesebwa abantu mu bungi nga amatooke, amata, emmwaanyi, kasooli n’omuwembe bisobola okwongerwako omutindo nebivaamu […]
Mulekerawo okwawulayawula mu mawanga – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Mulekerawo okwawulayawula mu bantu nga mwesigamye ku mawanga n’eddiini. Mwagale Uganda kuba mugyetaaga mu nkulaakulana. Yagala Afirika kuba ogyetaaga okugenda mu maaso. Twetaaga East Africa ne Afirika okugaziya akatale.” #ffemmwemmweffe #UgandaAt62
Ssekikubo avuddewo ne Sipiika Anita Among
Wabadde katemba atali musasulire mu lutuula lwa Palamenti olunaku lw’eggulo Omubaka Theodore Ssekikubu bweyagasimbaganye ne Sipiika Anita Among ngamulemesa okuleeta ekiteeso kye nga ye Sipiika ayagala kugenda kukiddako ku ‘order paper’. Ssekikubo yawaliriziddwa okuyimirira okumala akabanga ngayagala Sipiika amuwe omukisa okwogera ensonga ye. #ffemmwemmweffe #PlenaryUg
UNRA etandise okumenya ebizimbe ebiri mu road reserve
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority UNRA kikyagenda mu maaso n’okwerula ensalo z’enguudo zimwasanjala mu Ggwanga nga kyatandikidde Wantoni mu Mukono okumenya ebizimbe n’ebintu ebyateekebwa ku Road Reserve nga kati boolekedde Nakawa. UNRA egamba nti kino kikoleddwa okwerula oluguudo lwa Kampala – Jinja wamu n’okukisobozesa okukola emyala wamu n’ebifo abantu […]
Bano 5 mubayimbule tebalina musango – Ttabula
Abantu 5 abakwatibwa ku byekuusa ku kutemula eyali omukulu w’Ekika ky’Endiga Eng. Daniel Bbosa Kakeedo bavuddeyo nebasaba omulamuzi wa Kkooti ya Mwanga II okubayimbula kuba agambibwa okutegeka olukwe luno lwonna yakwatibwa era nakiriza nti yeyali omutwe omukulu mu kino. Bano bagamba nti bbo tebalina musango nti era tekiba kyabwenkanya okubakuumira mu kkomera sso nga balina […]