Erik Ten Hag agobeddwa oluvannyuma lwa Manchester United okukubwa ggoolo 2 ku 1

Abalwanyisa ekyokuggyawo UCDA mulina Abazungu ababasasula – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nayanukula ku nsonga y’ebbago ly’ebyobulimi eryayisiddwa mu Palamenti naddala ku nsonga z’ekitongole ekirondoola omutindo wamu n’okulaakulanya ekirime eky’emmwaanyi mu Ggwanga ekya UCDA; “Mbalamusizza nnyo Bannayuganda naddala Abazzukulu, ‘Balenkanga bye basaanidde okukola, nebakola byebatasaanidde kukola, n’amazima tegali mu bbo.’ Abalina okunenyezebwa beebo abaleeta ebyokusosola mu mawanga ebyekisiru mu nsonga eno. Katikkiro […]

Poliisi ewaddeyo emirambo 11 eri ab’enganda

Olunaku olwaleero Uganda Police Force ewaddeyo emirambo 11 gyabantu abayokebwa omuliro mu njega eyaggwawo e Kigoogwa nga gibadde mu ggwanika e Mulago. Ssaabaminisita akiikiriddwa Minisita Omubeezi avunaanyizibwa kukulungamya Eggwanga Kabbyanga Godfrey Baluku, Assistant Inspector General of Police Dr. Moses Byaruhanga awaddeyo alipoota ekwata ku ngeri omulimu gwokuzuula ab’Enganda gyekwakoleddwamu. Dr Byaruhanga ategeezezza nti emirambo 24 […]

Bakansala ba KCCA 2 bakwatiddwa lwakwekalakaasa

Bakansala ba KCCA okuli; Moses Kataabu ne Faridha Nakabugo bakwatiddwa Uganda Police Force bwebabadde batwala ekiwandiiko kyabwe ekiraga obutali bumativu bwabwe ku bigambo ebyayogeddwa Sipiika Anita Among ku Buganda mukukuba akalulu ku bbago lyokuggyawo ekitongole kya UCDA. Bya Kayanja Nasser #ffemmwemmweffe

Minisita Nabakooba alagidde offiisa eyabuze ekyapa akwatibwe

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka Judith Nabakooba olunaku lweggulo yalagidde Uganda Police Force e Mukono okukwata omukozi mu Offiisi y’ettaka eya Mukono Zonal lands office ku kigambibwa nti yagajjala ku mulimu nabuza ekyapa ky’omuntu. Hanifah Nantongo yatwaliddwa ku Mukono CPS era Minisita namulagira asasulire okugoba ku kyapa ekipya. #ffemmwemmweffe

Loole yamafuta endala egudde e Kabale

Loole yamafuta endala ekutte omuliro mu Kyanamira Trading Center ku luguudo lwa Kabale-Mbarara mu Disitulikiti ye Kabale. Okusinziira ku OC Traffic owa Disitulikiti ye Kabale Mucunguzi Wilson agamba nti Ddereeva yagiddwa mu motoka eno naddusibwa mu Ddwaliro e Kabale ngali mu mbeera mbi ddala. Ayongeddeko nti mpaawo mutuuze yalumiziddwa mu kabenje kano. #ffemmwemmweffe

Abayizi 1644 batikkiddwa e Nkumba

Ku Ssetendekero wa Nkumba olwaleero abayizi 1644 bebatikiddwa ddigiri mu masomo agenjawulo ku matikkira ag’omulundi ogwe 26 era nga bano kubaddeko aba PHD, Masters, Ddigiti ne Dipuliima. Omukolo gukulembeddwamu Prof. Emmanuel Katongole ngono ye Ssenkulu w’ettendekero lino. Abayizi bakubiriziddwa okuteeka byebasomye munkola. Amatikkira gabadde ku Ssetendekero lye Nkumba erisangibwa e Nkumba mu Katabi Town Council. […]

Kitalo! 4 bafiiridde mu kabenje ku lw’e Jinja

Kitalo! Emirambo emirala ebiri gisangiddwa wansi wa ttuleela ya sseminti etomedde Drone ne Forward ku luguudo lwa Kampala Jinja wakati wa Namawojjolo ne Mbarara enkya yaleero. Bya Kasozi Mugagga #ffemmwemmweffe

Ababaka Lugoloobi ne Kabanda bebamu kubasembye UCDA etwalibwe mu Minisitule yebyobulimi

Olukalala lw’Ababaka ba Palamenti abatadde abawagidde okuyisa ebbago lya National Coffee (Amendment) Bill, 2024 nga lino lyerigenda okuggyawo ekitongole kya UCDA kitwalibwe mu Minisitule yebyobulimi, obuvubi n’obulunzi. Mu bava mu Buganda abataddeko emikono kuliko; Daudi Kabanda, Amos Lugoloobi nabalala. #ffemmwemmweffe

Omubaka Malende ategese olusiisira lw’ebyobulamu

Olunaku olwaleero Omubaka omukyala owa Kampala Hon. Shamim Malende asisinkanye Bamaseeka okuva mu Kampala ku muzigiti e Kibuli ku nsonga yolusiisira lwebyobulamu olwobwereere olugenda okubeera e Kibuli ku Muzigiti okuva nga 30 October- 1 November. Essira lyakuteekebwa kukukebera kkookolo wamu nokukebera endwadde zonna. Olukiiko lukubiriziddws Supreme Mufti Muhammad Galabuzi. #ffemmwemmweffe #ShamimMalende