Mbabazi asuubirwa okukima empapula leero ku kuvuganya mu Kamyufu.

Pulezidenti Museveni yamazze okuwaayo obukadde 20 ku kwesimbawo mu NRM.

Akulira ebyokulonda mu NRM agamba nti Pulezidenti Museveni yamazze dda okuwaayo obukadde 20, nga ssente ez’essalira mu NRM ku kwesimbawo okuvuganya ku ani anaakwata Bendera ya NRM mu kalulu ka 2016. Wabula zo empapula tannaziggyayo.

Empapula z’obuyigirize tuggya kuzeekakasiza.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM Tang Odoi agamba nti empapula z’obuyigirize eza abagenda okuvuganya mu kalulu baakuzeekakasiza, nga basunsulamu abaneesimbawo.

E Buyikwe bakoze ekikwekweto ky’enjaga.

Ab’ebyokwerinda mu Disitulikiti ye Buyikwe bakoze ekikwekweto ky’enjaga mwebagwiridde ku misiri gyayo era nebaleka nga bagikudde.

Omulambo gw’omukadde gusangiddwa ku kkubo.

Omukadde ateeberezebwa okuba mu myaka nga 57, omulambo gwe gusangiddwa ku kkubo nga gwasobezeddwako. Bino bibadde mu Ggombolola y’e Buwama mu Disitulikiti ye Mpigi.

Abadde agezaako okubba ente akubiddwa amasasi.

Omusajja abadde agezaako okubba ente akubiddwa amasasi e Njeru. Abadde ne banne abalala ne baddduka.

Police e Luweero eri ku muyiggo gw’abasajja abaabadde n’emmundu nebatta abantu.

E Luweero – Kidaama, police eri ku muyiggo gw’abasajja abaabadde n’emmundu nebatta abantu basatu nga omwo mwemuli ne Ssentebe wa LCI.

Omuvubuka ow’emyaka 18 akubiddwa ekikonde n’afiirawo.

Omuvubuka ow’emyaka 18 akubiddwa ekikonde n’afiirawo mbulaga nga balwanira omuwala Bino bibadde Kayunga.

Rwanda eggyewo ekkomo ku bisanja by’obwa Pulezidenti.

Palamenti ya Rwanda akawungeezi ka ggyo yaggyewo ekkomo ku bisanja by’obwa Pulezidenti. Kino kizze oluvannyuma nga Pulezidenti aliko Kagame yaakamala okugamba nti ye tayagala kisanja kyakusatu.

DP eyongezzaaayo okuggyayo empapula z’okwesimbawo mu Kamyufu.

Ekibiina kya DP kyongezzaayo okuggyayo empapula z’okwesimbawo mu banaavuganya mu Kamyufu basobole okukwatira ekibiina bendera mu bifo eby’enjawulo. Ate mu ngeri y’emu ye akulira DP awakannyiza okwongezaayo Ttabamiruka.