Col Dr Kiiza Besigye akwatiddwa police.
Kikakasiddwa nti ne Dr Kiiza Besigye akwatiddwa enkya ya leero era naatwalibwa ku Police e Naggalama. Abadde waakukuba lukungaana okutongoza campaign ze.
Amama Mbabazi akwatiddwa mu kibuga Njeru nga ayolekera Jinja okudda e Mbale.
Amama Mbabazi akwatiddwa mu kibuga Njeru nga ayolekera Jinja okudda e Mbale. Afande Kaweesi akakasizza bino era nti atwaliddwa ku police ye Njeru.
Mbabazi amaze okusomoka Lugazi alumba Mbale
Amama Mbabazi amaze okusomoka Lugazi nga alumba ekibuga Mbale. Era wano ayaziddwa n’aweebwa go ahead.
Mbabazi bwalinnya e Mbale waakugombebwamu obwala – Fellix Kaweesi.
Akulira ebikwekweto bya Police Andrew Fellix Kaweesi agamba nti eyaliko Ssaabaminisita Mbabazi waalinnyira e Mbale waakugombebwamu obwala. Wabula ye Mbabazi alumye n’ogwengulu okugenda e Mbale.
Police eyabadde yetegudde ekibuga Mbale, ezzeemu okugumba.
Police akawungeezi ka ggyo eyabadde eyamuse ekibuga Mbale bukedde eteevunya nga buwuka. Kino kigendererwamu kulemesa Mbabazi kukuba lukungaana kwebuuza ku bawagizi be.
Katikkiro akungaanyizza ettofaali lya bukadde 200 okuva e Buddu,
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayega agamba nti Buganda eteekwa okwongera okukulaakulana, Abadde mu Ssaza lya Buddu gy’akunngaanyizza obukadde.
Abaserikale ababadde bagumbye e Mbale okulinda Mbabazi baggiddwawo
Akawungeezi ka leero abaserikale ababadde bagumbye e Mbale okulinda Mbabazi nga agenda okukuba olukunngaana, babatisse ku bimotoka byabwe okusomezebwawo e Kampala.
Eby’okwerinda binywezeddwa e Mbale okulemesa Mbabazi.
Eby’okwerinda binywezeddwa e Mbale okulemesa Mbabazi Mbabazi okukuba enkungaana okwebuuza ku bawagizi be ku ky’okwesimbawo mu 2016.
Palamenti ya Chile esooka eyisizza etteeka erikkiriza enjaga
Palamenti ya Chile esooka eyisizza etteeka erikkiriza enjaga. Nti waakiri buli Maka gabeere n’ebikolo 6,esobole okukozesebwa nga eddagala, okwesanyusa n’ebirala. Era etteeka lino lyawagiddwa ababaka bingi ddala. Kati lirinze kugenda mu Senate.