security guard killed in kampala

Forum for Democratic Change leaders in Bunyoro region say they will back current party President Mugisha Muntu.

Forum for Democratic Change leaders in the Bunyoro region say they will back current party President Mugisha Muntu over his predecessor col. Kizza Besigye as the party’s flag bearer in the 2016 general election polls. Maj. Gen. Mugusha Muntu as he kicked off his series of campaign meetings in Hoima town. The leaders who came […]

Essomero liggaddwa lwa baana kulumwa nvunza.

Essomero lya primary erimanyiddwa nga Maguru primary school mu bitundu bya Teso liggaddwa lwa baana b’essomero lino kulumwa nvunza.

Obubbi bw’ente bweyongedde okukyaka mu Disitulikiti ye Luweero.

Ebikolwa by’obubbi bw’ente byeyongedde mu Disitulikiti ye Luweero, kiddiridde okukwatibwa kwa omusajja eyabbye ente okuva mu bitundu bye ziroobwe. Omusajja ono akwatiddwa mu bitundu bye Kikyusa.

Amama Mbabazi abadde anonye empapula avuddeyo ngalo nsa.

Eyaliko Ssaabaminisita Amama Mbabazi awuniikirizza abantu bw’abadde anonye empapula naye n’avaayo ngalo nsa. Kino kizze oluvannyuma lw’obutakkaanya ku bigobererwa omuli okusooka okusasula nga tonnafuna form.

Mbabazi asuubirwa okukima empapula leero ku kuvuganya mu Kamyufu.

Hon Amama Mbabazi asuubirwa okukima empapula leero ku kuvuganya mu Kamyufu ka NRM ku ani anaakwatira NRM bendera ku Ntebe y’eggwanga 2016(PULEZIDENTI). 6

Pulezidenti Museveni yamazze okuwaayo obukadde 20 ku kwesimbawo mu NRM.

Akulira ebyokulonda mu NRM agamba nti Pulezidenti Museveni yamazze dda okuwaayo obukadde 20, nga ssente ez’essalira mu NRM ku kwesimbawo okuvuganya ku ani anaakwata Bendera ya NRM mu kalulu ka 2016. Wabula zo empapula tannaziggyayo.

Empapula z’obuyigirize tuggya kuzeekakasiza.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM Tang Odoi agamba nti empapula z’obuyigirize eza abagenda okuvuganya mu kalulu baakuzeekakasiza, nga basunsulamu abaneesimbawo.

E Buyikwe bakoze ekikwekweto ky’enjaga.

Ab’ebyokwerinda mu Disitulikiti ye Buyikwe bakoze ekikwekweto ky’enjaga mwebagwiridde ku misiri gyayo era nebaleka nga bagikudde.

Omulambo gw’omukadde gusangiddwa ku kkubo.

Omukadde ateeberezebwa okuba mu myaka nga 57, omulambo gwe gusangiddwa ku kkubo nga gwasobezeddwako. Bino bibadde mu Ggombolola y’e Buwama mu Disitulikiti ye Mpigi.