Abadde agezaako okubba ente akubiddwa amasasi.

Police e Luweero eri ku muyiggo gw’abasajja abaabadde n’emmundu nebatta abantu.

E Luweero – Kidaama, police eri ku muyiggo gw’abasajja abaabadde n’emmundu nebatta abantu basatu nga omwo mwemuli ne Ssentebe wa LCI.

Omuvubuka ow’emyaka 18 akubiddwa ekikonde n’afiirawo.

Omuvubuka ow’emyaka 18 akubiddwa ekikonde n’afiirawo mbulaga nga balwanira omuwala Bino bibadde Kayunga.

Rwanda eggyewo ekkomo ku bisanja by’obwa Pulezidenti.

Palamenti ya Rwanda akawungeezi ka ggyo yaggyewo ekkomo ku bisanja by’obwa Pulezidenti. Kino kizze oluvannyuma nga Pulezidenti aliko Kagame yaakamala okugamba nti ye tayagala kisanja kyakusatu.

DP eyongezzaaayo okuggyayo empapula z’okwesimbawo mu Kamyufu.

Ekibiina kya DP kyongezzaayo okuggyayo empapula z’okwesimbawo mu banaavuganya mu Kamyufu basobole okukwatira ekibiina bendera mu bifo eby’enjawulo. Ate mu ngeri y’emu ye akulira DP awakannyiza okwongezaayo Ttabamiruka.

Besigye atongozza enteekateeka ze ez’okuwenja akalulu.

Olwaleero Col Dr Kiiza Besigye atongozza enteekateeka ze ez’okuwenja akalulu asobole okufuna Kaadi y’ekibiina kya FDC Mu kalulu aka 2016 Besigye atandikidde Kasangati n’amalira e Kawempe.

Police e Lugazi eri ku muyiggo gw’abatugumbudde omukazi.

Police e Lugazi eri ku muyiggo gw’abatugumbudde omukazi okutambula omulambo nebagusuula mu ssamba y’ebikajjo bya Metha e Lugazi. Kitalo.

Namungi w’omuntu e Kasangati nga Besigye akuba olukunngaana.

Oluvannyuma lwa police pkukkiriza aba FDC okukuba enkungaana z’ebyobufuzi, leero,Dr. Besigye olulwe luri Kasangati. Era nga wetwogerera nga eby’okwerinda biri gguluggulu ate nga abantu bayitirivu nnyo e Kasangati awali olukunngaana.

Pulezidenti Museveni agenze Burundi kutabaganya.

Pulezidenti Museveni asitudde olwaleero okwolekera Burundi okutabaganya enkaayana wakati wa oludda oluvuganya Gavumenti ne Pulezidenti aliko kati ayagala okwongera okwesimbawo.

Okuggyayo empapula z’okwesimbawo mu Kamyufu ka NRM kutandise.

Oluvannyuma lwa ekibiina kya NRM okulangirira enteekateeka zaakyo, leero bagguddewo Okutandika okuggyayo empapula ku banaavuganya mu Kamyufu mu bifo eby’enjawulo. Muno mulimu Pulezidenti, Lord Mayor, ababaka ba Palamenti, ba Ssentebe ba zi Disitulikiti n’ebifo ebirala