NRM aspirants start Picking nominations forms today
NRM members aspiring for different elective positions have began picking Nomination forms at the party secretariat kyadondo road. The elective positions include MPs, LC5, Lord Mayor, President, National Chairperson and vice chairpersons posts will be conducted upon paying a fee. In Short. The party has introduced nomination fees for all post with Presidential aspirants paying […]
Kayihura asuubizza okukwata abatta Sheikh Hassan Kirya.
Akulira ekitongole kya police mu Uganda General Kale Kayihura asuubizza ba Namwandu ba Sheikh Hassan Kirya, okukwata abo abatta kirya. Bino yabyogedde bweyabadde alambula amaka g’omugenzi agali e Bweyogerere ne Busaabala.
Abakozi abatali basomesa mu Kyambogo beediimye.
Abakozi mu Kyambogo University abatali basomesa, omuli abawandiisi, abayonja, abafumba n’abalala. Baagala nabo kubongeza musaala.
Enanga asambazze ebyogerwa nti Police ewagira Gavumenti.
Omwogezi wa Police Fred Enanga Asambazze ebyogerwa Besigye, Mbabazi n’abantu abalala nti police eri ku ludda lwa Gavumenti. Agamba nti police egoberera mateeka.
Police ekkirizza aba FDC okukuba enkungaana z’ebyobufuzi
Kyaddaaki police ekkirizza FDC okukuba enkungaana z’ebyobufuzi nga abeesimbyewo basaba obuwagizi okuva mu bawagizi byabwe, muno mulimu Mugisha Muntu ne Besigye.
Embalirira ntono nnyo okumaliriza ebizibu Buganda by’etubiddemu – Katikkiro Mayega.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayega akaayuukidde embalirira ya Buganda esomeddwa Minisita w’ebyensimbi Eva Nagawa leero ebadde mu buwumbi 08. Mayega agamba nti ezo ssente ntono ddala kumpi waliwo n’abazirina ba Ssekinnoomu. N’olwekyo ku bizibu Buganda mwetubidde ziba tezimala.
Mukolere ebintu mu mateeka – Katikkiro Mayega.
Leero mu kusoma embalirira ya Buganda, Katikkiro Charles Peter Mayega akubirizza bannabyafuzi okukola eby’obufuzi bonna mu mateeka, baleme kuleka ggwanga nga baliyuzizzayuzizza.
Ateeberezebwa okubba sapatu yeetugidde mu kaduukulu.
Omukazi ateeberezebwa okubba sapatu yeetugidde mu kaduukulu e Wobulenzi. Abaserikale bagenze okuggulawo okumuwa Emmere, nga aleebeetera waggulu.
Minisita Nyakayirima atongozza okugaba endagamuntu mu bitundu bya soroti
Minisita w’ensonga zomunda mu gwanga General Aronda Nyakayirima, atongozza okugaba endagamuntu mu bitundu bya soroti. Muno mulimu zi Disitulikiti eziri eyo mu musanvu omuli Kaberamaido, Kumi n’emidala.