Ababaka ba Palamenti bavumiridde okukwatibwa kwa Mbabazi.
Ababaka ba Palamenti naddala ab’oludda oluvuganya Gavumenti, bavumiridde okukwatibwa kwa Mbabazi. Kino kiddiridde okukwatibwa kwa Mbabazi eggulo bweyabadde ku Lugendo lwe olw’e Mbale. Ate mu ngeri y’emu ne Dr Kiiza Besigye naakwatibwa.
Amama Mbabazi ateereddwa okuva ku Police ya Kiira Road.
Eyaliko Ssaabaminisita wa Uganda JP Amama Mbabazi ateereddwa ku ssaawa ssatu n’obudakiika obuyitamu okuva ku Police ya Kiira Road era wetwogerera atuuse mu Maka ge e Kololo.
Mbabazi says Uganda is a police state
My arrest is a sign of regresion not the democracy we worked for. Uganda is a police state where the police force is directly used by President museveni to retain himself in power. How can you have a partisan police in a political enviroment he says. All this is what i have come to fight […]
Amama Mbabazi Released
Presidential hopefull John Patrick Amama Mbabazi has been released after spending over 7 hours in detentuon at kira roaad police. He has been charged with disobediance of “lawfull orders” and realeased on caution. He has been released in darkness after the police at Kira road switched off all lights pissibly to ensure that no photographs […]
Amama Mbabazi kati areeteddwa ku Police ya Kiira Road.
Amama Mbabazi kati areeteddwa ku Police ya Kiira Road era wetwogerera waakumirwa.
Col Dr Kiiza Besigye akwatiddwa police.
Kikakasiddwa nti ne Dr Kiiza Besigye akwatiddwa enkya ya leero era naatwalibwa ku Police e Naggalama. Abadde waakukuba lukungaana okutongoza campaign ze.
Amama Mbabazi akwatiddwa mu kibuga Njeru nga ayolekera Jinja okudda e Mbale.
Amama Mbabazi akwatiddwa mu kibuga Njeru nga ayolekera Jinja okudda e Mbale. Afande Kaweesi akakasizza bino era nti atwaliddwa ku police ye Njeru.
Mbabazi amaze okusomoka Lugazi alumba Mbale
Amama Mbabazi amaze okusomoka Lugazi nga alumba ekibuga Mbale. Era wano ayaziddwa n’aweebwa go ahead.
Mbabazi bwalinnya e Mbale waakugombebwamu obwala – Fellix Kaweesi.
Akulira ebikwekweto bya Police Andrew Fellix Kaweesi agamba nti eyaliko Ssaabaminisita Mbabazi waalinnyira e Mbale waakugombebwamu obwala. Wabula ye Mbabazi alumye n’ogwengulu okugenda e Mbale.