Katikkiro akungaanyizza ettofaali lya bukadde 200 okuva e Buddu,
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayega agamba nti Buganda eteekwa okwongera okukulaakulana, Abadde mu Ssaza lya Buddu gy’akunngaanyizza obukadde.
Abaserikale ababadde bagumbye e Mbale okulinda Mbabazi baggiddwawo
Akawungeezi ka leero abaserikale ababadde bagumbye e Mbale okulinda Mbabazi nga agenda okukuba olukunngaana, babatisse ku bimotoka byabwe okusomezebwawo e Kampala.
Eby’okwerinda binywezeddwa e Mbale okulemesa Mbabazi.
Eby’okwerinda binywezeddwa e Mbale okulemesa Mbabazi Mbabazi okukuba enkungaana okwebuuza ku bawagizi be ku ky’okwesimbawo mu 2016.
Palamenti ya Chile esooka eyisizza etteeka erikkiriza enjaga
Palamenti ya Chile esooka eyisizza etteeka erikkiriza enjaga. Nti waakiri buli Maka gabeere n’ebikolo 6,esobole okukozesebwa nga eddagala, okwesanyusa n’ebirala. Era etteeka lino lyawagiddwa ababaka bingi ddala. Kati lirinze kugenda mu Senate.
Palamenti eyisizza ebbago ly’etteeka ku bukenuzi
Palamenti akawungeezi ka ggyo yayisizza ebbago ku tteeka ly’obukenuzi, era nga omuntu yenna asingisibwa omusango aggyibwako ebintu bye eby’obugagga.
Pulezidenti Uhuru Kenyata atadde omukono ku tteeka erikkiriza abasajja okuwasa abakazi bebaagala
Pulezidenti wa Kenya Uhuru Kenyata olwaleero atadde omukono ku tteeka erikkiriza abasajja okwewasizza abakazi be baagala bonna,,,,!
Katikkiro Mayega akungaanyizza ettofaali eddene mu Buddu
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayega akungaanyizza ettofaali eddene ddala nga liri eyo mu bukadde 50 mu ssaza lya Buddu. Eryo nno lya lunaku lumu kuba n’enkya waakwongera okutalaaga Buddu.
Sex Workers Meet in Kampala
By Joshua Mutale. Kampala sex workers have met to chat a way forward on what they call oppressive laws. Among such laws include the Anti pornography law which they have appealed against since it was passed last year, Sec15 of the Equal opportunities Commission Act 2007 which prevents marginalised groups from accessing benefits provided under […]
Abateesiteesi b’omwoleso gw’ebyobulimi e Jinja basattira.
Abateesiteesi b’omwoleso gw’ebyobulimi e Jinja ku Source of the Nile basattira lwakuba nti abantu tebagujjumbidde. Omwoleso guno gutandise leero naye mbu n’emidaala egimu gikyali Mukazi, so nga ate Pulezidenti Museveni waakuguggulawo mu butongole enkya.